OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Ye “Kitaawe w’Abatalina Bakitaabwe”
Buli mwaka, abavubuka bangi basalawo okuweereza Yakuwa. (Zb 110:3) Mmwe abavubuka, Yakuwa abafaako nnyo. Ategeera okusoomooza kwe mwolekagana nakwo era asuubiza okubayamba okweyongera okumuweereza. Bw’oba ng’oli mu maka agalimu omuzadde omu, kijjukire nti Yakuwa ye “Kitaawe w’abatalina bakitaabwe.” (Zb 68:5) Yakuwa asobola okukuyamba okusobola okweyongera okumuweereza k’ebeere mbeera ki gy’oyolekagana nayo ewaka.—1Pe 5:10.
MULABE VIDIYO ABO ABALWANIRIRA OKUKKIRIZA KWABWE—ABAKUZIBWA ABAZADDE ABALI OBWANNAMUNIGINA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Kiki ky’oyigidde ku Tammy, Charles, ne Jimmy?
-
Okusinziira ku Zabbuli 27:10, kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abali mu maka agalimu omuzadde omu?