OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeteekeddeteekedde Embeera y’Eby’Enfuna Enzibu?
Eby’enfuna mu nsi bwe bigootaana tekitwewuunyisa. Lwaki? Kubanga tuli mu nnaku ezisembayo ez’ennaku ez’enkomerero era Bayibuli etukubiriza obutassa ssuubi lyaffe “mu by’obugagga ebitali bya lubeerera.” (1Ti 6:17; 2Ti 3:1) Kiki kye tuyigira ku Kabaka Yekosafaati ekiyinza okutuyamba okwetegekera obuzibu bw’eby’enfuna obuyinza okugwaawo?
Amawanga bwe gaatiisatiisa okulumba Yuda, Yekosafaati yeesiga Yakuwa. (2By 20:9-12) Ate era alina ebintu ebirala bye yakola, gamba ng’okuzimba ebigo okwetooloola ebibuga n’okussa enkambi z’abasirikale mu bibuga. (2By 17:1, 2, 12, 13) Okufaananako Yekosafaati, naffe tusaanidde okwesiga Yakuwa era ne tubaako kye tukolawo okweteekerateekera ebiseera ebizibu.
MULABE VIDIYO WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Kiki buli omu ky’asobola okukola okweteekerateekera akatyabaga?
-
Tuyinza tutya okweteekateeka okuyamba abalala nga waguddewo akatyabaga?