Jjuuni 17-23
ZABBULI 51-53
Oluyimba 89 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak.1)
1. By’Osobola Okukola Okwewala Okukola Ensobi ez’Amaanyi
(Ddak. 10)
Tokitwala nti ggwe tosobola kukola nsobi; abantu bonna bakola ensobi (Zb 51:5; 2Ko 11:3)
Weeyongere okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo (Zb 51:6; w19.01 lup. 15 ¶4-5)
Lwanyisa ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi (Zb 51:10-12; w15 6/15 lup. 14 ¶5-6)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 52:2-4—Ennyiriri ezo ziraga zitya ebikolwa bya Dowegi? (it-1-E lup. 644)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 51:1-19 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 2) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. (lmd essomo 7 akatundu 3)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 2) NNYUMBA KU NNYUMBA. (lmd essomo 4 akatundu 4)
6. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Muyigirize erinnya lya Katonda. (lmd essomo 9 akatundu 5)
7. Okufuula Abantu Abayigirizwa
Oluyimba 115
8. By’Osobola Okukola Okutereeza Ensobi Zo
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Ffenna tukola ensobi wadde nga tufuba okwegendereza. (1Yo 1:8) Naye bwe tusobya, tetusaanidde kukkiriza kuswala oba okutya ebyo ebinaavaamu, kutulemesa kusaba Yakuwa atusonyiwe era n’okufuna obuyambi okuva eri abakadde. (1Yo 1:9) Okudda eri Yakuwa kye kintu ekisooka kye tusaanidde okukola okusobola okutereeza ensobi zaffe.
Soma Zabbuli 51:1, 2, 17. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Ebigambo bya Dawudi ebyo biyinza bitya okutukubiriza okudda eri Yakuwa nga tukoze ekibi eky’amaanyi?
Mulabe VIDIYO Bwe Nnali Omutiini—Nnyinza Ntya Okutereeza Ensobi Zange? Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Biki ebyaviirako Thalila ne José okukola ensobi?
-
Biki bye baakola okutereeza ensobi zaabwe?
-
Miganyulo ki gye baafuna?
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 11 ¶5-10, akasanduuko ku lupapula 101