Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjuuni 3-9

ZABBULI 45-47

Jjuuni 3-9

Oluyimba 27 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yesu Kristo ng’ali n’omugole we, kwe kugamba, abaafukibwako amafuta, 144,000

1. Oluyimba Olukwata ku Mbaga ya Kabaka

(Ddak. 10)

Zabbuli 45 eyogera ku mbaga ya Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda (Zb 45:​1, 13, 14; w14 2/15 lup. 9-10 ¶8-9)

Embaga ya Kabaka oyo ejja kubaawo oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni (Zb 45:​3, 4; w22.05 lup. 17 ¶10-12)

Abantu bonna bajja kufuna emikisa oluvannyuma lw’embaga eyo (Zb 46:​8-11; it-2-E lup. 1169)


WEEBUUZE, ‘“Omutima gwange gubuguumiridde” okulangirira amawulire amalungi agakwata ku Kabaka waffe Yesu Kristo?’—Zb 45:1.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 45:16—Olunyiriri olwo lutulaga ki ku ngeri obulamu gye bunaabaamu mu nsi empya? (w17.04 lup. 11 ¶9)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. (lmd essomo 1 akatundu 3)

5. Okwogera

(Ddak. 5) ijwbv 26—Omutwe: Ebigambo Ebiri mu Zabbuli 46:10 Birina Makulu Ki? (th essomo 18)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 4) Ekyokulabirako. g-E 12/10 lup. 22-23—Omutwe: Olina Ndowooza Ki ku Kulya Ebisiyaga? (lmd essomo 6 akatundu 5)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 131

7. Weeyongere Okwagala Munno mu Bufumbo

(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.

Olunaku lw’embaga luba lwa ssanyu nnyo. (Zb 45:​13-15) Emirundi mingi, olunaku lw’embaga lwe lumu ku nnaku ezikyasinze okuleetera abafumbo essanyu. Naye kiki abafumbo kye bayinza okukola, okusigaza essanyu eryo mu bufumbo bwabwe?—Mub 9:9.

Okusobola okuba abasanyufu, abafumbo balina okulagaŋŋana okwagala. Abafumbo basaanidde okukoppa Isaaka ne Lebbeeka. Bayibuli eraga nti Isaaka ne Lebbeeka baali bakyalagaŋŋana okwagala okw’amaanyi n’oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu 30 mu bufumbo bwabwe. (Lub 26:8) Biki ebiyinza okuyamba abafumbo okulagaŋŋana okwagala ng’okwo?

Mulabe VIDIYO Okuba n’Obufumbo Obulimu Essanyu: Laga Okwagala. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Biki ebiyinza okuleetera abafumbo okulekera awo okulagaŋŋana okwagala okw’amaanyi mu bufumbo bwabwe?

  • Biki buli omu ku bafumbo by’ayinza okukola okuleetera munne okuwulira nti ayagalibwa era nti afiibwako?—Bik 20:35

8. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 5)

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 10 ¶13-21

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 111 n’Okusaba