Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 13-19

ZABBULI 38-39

Maayi 13-19

Oluyimba 125 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Okulekera Awo Okulumirizibwa Ennyo Omuntu ow’Omunda

(Ddak. 10)

Okulumirizibwa ennyo omuntu ow’omunda kifaananako okwetikka omugugu oguzitowa ennyo (Zb 38:​3-8; w20.11 lup. 27 ¶12-13)

Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku nsobi ze wakola mu biseera eby’emabega, beera mumalirivu okukola ebisanyusa Yakuwa (Zb 39:​4, 5; w02-E 11/15 lup. 20 ¶1-2)

Saba Yakuwa wadde nga tekiba kyangu kumusaba ng’olumirizibwa omuntu ow’omunda (Zb 39:12; w21.10 lup. 15 ¶4)

Bw’oba ng’omuntu wo ow’omunda akulumiriza nnyo, kijjukire nti Yakuwa ‘asonyiyira ddala’ aboonoonyi abeenenya.—Is 55:7.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 39:1—Mbeera ki eziyinza okutwetaagisa ‘okusiba emimwa gyaffe?’ (w22.09 lup. 13 ¶16)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Yogera mu Ngeri ey’Amagezi—Ekyo Pawulo Kye Yakola

(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo lmd essomo 5 akatundu 1-2.

5. Yogera mu Ngeri ey’Amagezi—Koppa Pawulo

(Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo lmd essomo 5 akatundu 3-5 ne “Laba ne.”

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 44

6. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak.15)

7. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 84 n’Okusaba