Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 20-26

ZABBULI 40-41

Maayi 20-26

Oluyimba 102 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Lwaki Tusaanidde Okuyamba Abalala?

(Ddak. 10)

Bwe tuyamba abalala tufuna essanyu (Zb 41:1; w18.08 lup. 22 ¶16-18)

Abo abayamba abalala, Yakuwa abayamba (Zb 41:​2-4; w15 12/15 lup. 24 ¶7)

Bwe tuyamba abalala kireetera Yakuwa okutenderezebwa (Zb 41:13; Nge 14:31; w17.09 lup. 12 ¶17)

WEEBUUZE, ‘Waliwo omuntu yenna mu kibiina kyaffe eyeetaaga obuyambi asobole okweyongera okuganyulwa mu bujjuvu mu kukozesa JW Library?

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 40:​5-10—Okusinziira ku nnyiriri ezo, bwe tuba nga tukkiriza nti Yakuwa ye Mufuzi waffe, kiki kye tusaanidde okukola? (it-2-E lup. 16)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Tandika okunyumya n’omuntu alabika nga musanyufu. (lmd essomo 2 akatundu 3)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Tandika okunyumya n’omuntu alabika nga munakuwavu. (lmd essomo 3 akatundu 5)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 5) lff essomo 14 akatundu 6. Mukubaganye ebirowoozo n’omuyizi wa Bayibuli atya okubaako ky’addamu mu nkuŋŋaana, ku nsonga emu okuva mu kitundu “Tendereza Yakuwa mu Kibiina,” ekiri wansi w’omutwe “Laba Ebisingawo.” (th essomo 19)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 138

7. Kolera Abo Abakaddiye Ebirungi

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Yakuwa asiima ebyo byonna Abakristaayo abeesigwa abakaddiye bye bakola mu kibiina, era naffe tubasiima nnyo. (Beb 6:10) Bamaze emyaka mingi nga bayigiriza bakkiriza bannaabwe, nga babatendeka era nga babazzaamu amaanyi. Oboolyawo naawe balina engeri gye bakuyambyemu. Oyinza otya okukiraga nti osiima ebyo bye bakola ne bye bakyeyongera okukola mu kibiina?

Mulabe VIDIYO ‘Koleranga Baganda Baffe Ebirungi’ Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Biki ow’oluganda Ho-jin Kang bye yayigiriza Ji-Hoon?

  • Biki ebikuleetera okusiima abo abakaddiye abali mu kibiina kyammwe?

  • Olugero lw’Omusamaliya omulungi lutuyigiriza ki?

  • Olowooza lwaki kyali kirungi Ji-Hoon okugamba abalala okumwegattako okuyamba ow’oluganda Ho-jin Kang?

Bwe tulowooza ennyo ku byetaago bya bakkiriza bannaffe abakaddiye abali mu kibiina kyaffe, tusobola okulaba engeri nnyingi gye tusobola okubayambamu. Bw’omanya ekyo kye beetaaga, lowooza ku ngeri gy’osobola okubayambamu.—Yak 2:​15, 16.

Soma Abaggalatiya 6:10. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Biki by’oyinza okukola okuyamba abo abakaddiye abali mu kibiina kyammwe?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 8 n’Okusaba