Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 27–Jjuuni 2

ZABBULI 42-44

Maayi 27–Jjuuni 2

Oluyimba 86 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Ganyulwa mu Bujjuvu mu Ebyo Yakuwa by’Atuyigiriza

(Ddak. 10)

Sinza Yakuwa ng’oli wamu n’abalala ku Kizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba kisoboka (Zb 42:​4, 5; w06 7/1 lup. 9 ¶4)

Saba Yakuwa nga tonnatandika kwesomesa Bayibuli (Zb 42:8; w12 1/15 lup. 15 ¶2)

Kkiriza Ekigambo kya Katonda okukuluŋŋamya mu ebyo byonna by’okola (Zb 43:3)

Yakuwa by’atuyigiriza bituyamba okugumira ebizibu n’okunywerera ku bweyamo bwe twakola obw’okumuweereza emirembe gyonna.—1Pe 5:10; w16.09 lup. 5 ¶11-12.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 44:19—Ebigambo “ebibe we bibeera” biyinza okuba nga bitegeeza ki? (it-1-E lup. 1242)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 5 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 5) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mwanirize okujja okuwuliriza okwogera eri bonna okujja okuweebwa. Mulabe vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? era mugikubaganyeeko ebirowoozo (lmd essomo 7 akatundu 5)

6. Okwogera

(Ddak. 3) lmd Ebyongerezeddwako A akatundu 4—Omutwe: Buli muntu ajja kuba mulamu bulungi. (th essomo 2)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 21

7. Salawo mu Ngeri ey’Amagezi ku Bikwata ku Mirimu n’Obuyigirize

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Abavubuka, mulowooza ku ekyo kye munaakola nga mumaze okusoma? Oyinza okuba ng’olina omulimu gw’olowoozaako, gw’osobola okukola ng’eno bw’oweereza nga payoniya. Oboolyawo olowooza ku buyigirize obunaakuyamba okufuna obukugu, satifikeeti, oba dipulooma, ebinaakusobozesa okufuna omulimu ng’ogwo. Ekiseera kino kikulu nnyo mu bulamu bwo! Kyokka oyinza okuwulira ng’osobeddwa, olw’obutaba mukakafu ku ki ky’onoolondawo kukola, oba ng’owulira oyagala kusalawo mu ngeri enaasanyusa abalala. Kiki ekinaakuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

Soma Matayo 6:​32, 33. Oluvannyuma obuuze abakuwuliriza nti:

  • Lwaki kirungi okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo nga tonnasalawo mulimu gw’onookola oba obuyigirize bw’onoofuna?

  • Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukolera ku ebyo ebiri mu Matayo 6:​32, 33?—Zb 78:​4-7

Weegendereze, okwagala okufuna ssente ennyingi oba ettutumu bireme kukutwaliriza ng’osalawo. (1Yo 2:​15, 17) Kijjukire nti omuntu bw’aba n’ebintu ebingi, kiyinza okumuzibuwalira okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe. (Luk 18:​24-27) Ate era, omuntu bw’aba ng’akola nnyo asobole okugaggawala, kimuzibuwalira okukula mu by’omwoyo, n’okussa essira ku kusanyusa Yakuwa.—Mat 6:24; Mak 8:36.

Mulabe VIDIYO Teweesiganga Bintu Ebiggwaawo!—Eby’Obugagga. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza ekibuuzo kino:

  •   Ebiri mu Engero 23:​4, 5 biyinza bitya okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 10 ¶5-12

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 47 n’Okusaba