Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Maayi 6-12

ZABBULI 36-37

Maayi 6-12

Oluyimba 87 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Tokwatibwanga Busungu olw’Ababi”

(Ddak. 10)

Abantu ababi batuleetera okubonaabona (Zb 36:​1-4; w17.04 lup. 10 ¶4)

Bwe tusunguwalira ‘abantu ababi’ kitukosa (Zb 37:​1, 7, 8; w22.06 lup. 10 ¶10)

Bwe tuba abakakafu nti ebyo Yakuwa by’asuubiza bijja kutuukirira, tuba n’emirembe (Zb 37:​10, 11; w03 12/1 lup. 26 ¶20)

WEEBUUZE, ‘Ebintu ebibi ebyogerwako mu mawulire mbissaako nnyo ebirowoozo?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 36:6—Omuwandiisi wa zabbuli ayinza okuba nga yali ategeeza ki bwe yagamba nti obutuukirivu bwa Yakuwa bulinga “ensozi engulumivu [oba, “ensozi za Katonda,” obugambo obuli wansi.]”? (it-2-E lup. 445)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. (lmd essomo 1 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omuntu atakkiriza kuyiga Bayibuli mu kusooka, engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 9 akatundu 4)

6. Okwogera

(Ddak. 5) ijwbv 45—Omutwe: Ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:4 birina makulu ki? (th essomo 13)

OBULAMU BW’EKIKRSTAAYO

Oluyimba 33

7. Weetegekedde ‘Ebiseera Ebizibu’?

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo

Okwetooloola ensi, bakkiriza bannaffe abamu bagwiriddwako obutyabaga obuva ku butonde oba obuleetebwa abantu. Ekyo kibaviiriddeko okufiirwa ebintu byabwe n’abantu baabwe. (Zb 9:​9, 10) Akatyabaga kayinza okugwawo ekiseera kyonna, n’olwekyo ffenna tusaanidde okweteekateeka.

Ng’ogyeeko okuteekateeka ebintu ebinaatuyamba ng’akatyabaga kaguddewo, abiki ebirala ebinaatuyamba nga kaguddewo?

  • Weeteeketeeke mu birowoozo: Kimanye nti obutyabaga bugwawo, era lowooza ku ekyo ky’oyinza okukola nga akatyabaga kaguddewo. Weewale okwagala ennyo ebintu by’olina. Ekyo kijja kukuyamba okukola ebintu mu ngeri ey’amagezi, essira oliteeke ku kufuba okuwonyaawo obulamu bwo n’obw’abalala mu kifo ky’okutaakiriza ebintu byo. (Lub 19:16; Zb 36:9) Ate era kijja kukuyamba obutayisibwa bubi nnyo ng’ofiiriddwa ebintu byo.—Zb 37:19

  • Weeteeketeeke mu by’omwoyo: Weeyongere okuba omukakafu nti Yakuwa asobola okukulabirira era nti ekyo ayagala okukikola. (Zb 37:18) Nga akatyabaga tekannagwawo, kijjukirenga nti Yakuwa ajja kuwa abaweereza be obulagirizi era abayambe ne bwe kiba nti ebintu byabwe byonna bisaanyeewo, era nga ‘bulamu bwabwe’ bwokka bwe buwonyeewo.—Yer 45:5; Zb 37:​23, 24

Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye, tuba tumufudde ‘kigo kyaffe mu biseera eby’obuyinike.’—Zb 37:39.

Mulabe VIDIYO Weetegekedde Akatyabaga? Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Yakuwa ayinza atya okutuyamba nga waguddewo akatyabaga?

  • Biki bye tuyinza okukola okweteekerateekera akatyabaga?

  • Tusobola tutya okuyamba abo abakoseddwa obutyabaga?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 9 ¶8-16

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 57 n’Okusaba