Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka—Temulwawo Kweteerawo Biruubirirwa eby’Omwoyo

Abavubuka—Temulwawo Kweteerawo Biruubirirwa eby’Omwoyo

Kyangu okulowooza nti tujja kusigala nga tuli bavubuka ennaku zonna era nti tetulituuka mu ‘nnaku ez’obuyinike’ ezijja ng’omuntu akaddiye. (Mub 12:1) Bw’oba ng’okyali muvubuka, kiba kituufu obuteeteerawo biruubirirwa bya mwoyo ng’olowooza nti okyalina ebiseera bingi nnyo?

“Ebintu ebitasuubirwa” bitutuukako ffenna, nga mw’otwalidde n’abavubuka. (Mub 9:11) Ate era, “temumanyi kijja kutuuka ku bulamu bwammwe enkya.” (Yak 4:14) N’olwekyo, bw’oba nga tolina kikulemesa, tolwawo kweteerawo biruubirirwa bya mwoyo. Yingira mu mulyango omunene ogw’okukola emirimu ng’oluggi lukyali luggule. (1Ko 16:9) Bw’onookola bw’otyo, tojja kwejjusa.

Ebiruubirirwa eby’omwoyo bye muyinza okweteerawo:

  • Okubuulira mu lulimi olulala

  • Okuweereza nga payoniya

  • Okugenda mu masomero g’ekibiina

  • Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka

  • Okuweereza ku Beseri

  • Okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu

Wandiika ebiruubirirwa byo eby’omwoyo: