Noovemba 28–Ddesemba 4
OLUYIMBA LWA SULEMAANI 1-8
Oluyimba 106 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omuwala Omusunamu Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo ky’Oluyimba lwa Sulemaani.]
Luy 2:7; 3:5
—Omuwala Omusunamu yali mumalirivu okulindirira okutuusa lwe yandifunye omuntu gw’ayagalira ddala (w15 1/15 31 ¶11-13) Luy 4:12; 8:8-10
—Bwe yali alindirira, yeekuuma n’asigala nga mwesigwa eri Yakuwa (w15 1/15 31-32 ¶14-16)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Luy. 2:1
—Ngeri ki ennungi omuwala Omusunamu ze yalina ezaayongera okumulungiya? (w15 1/15 31 ¶13) Luy 8:6
—Lwaki omukwano ogwa nnamaddala gwogerwako ‘ng’ennimi z’omuliro gwa Ya’? (w15 1/15 29 ¶3; w07 2/1 18 ¶6) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Luy 2:1-17
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) bh
—Beera ng’amaze okumulaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? olyoke omwanjulire akatabo ako. Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) bh
—Omuntu muyite ajje mu nkuŋŋaana. Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bh 29-31 ¶8-9
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 115
“Abavubuka Babuuza—Ntuuse Okwogereza oba Okwogerezebwa?”: (Ddak. 9) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitundu ekirina omutwe, “Abavubuka Babuuza
—Ntuuse Okwogereza oba Okwogerezebwa?” (Genda ku jw.org/lg. ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAVUBUKA.) Omanya Otya Omukwano Ogwa Nnamaddala?: (Ddak. 6) Mulabe vidiyo eya bukaatuuni erina omutwe, Omanya Otya Omukwano Ogwa Nnamaddala? oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv lup. 46-49
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 120 n’Okusaba