OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Omwami We Amanyiddwa ku Miryango gy’Ekibuga”
Omukyala omulungi aweesa omwami we ekitiibwa. Mu kiseera kya Kabaka Lamweri, omusajja eyabanga n’omukyala omulungi yabanga “amanyiddwa ku miryango gy’ekibuga.” (Nge 31:23) Leero, abasajja abaweereza ng’abakadde n’abaweereza mu kibiina bassibwamu ekitiibwa. Bwe baba bafumbo, enneeyisa ya bakyala baabwe erina kinene nnyo ky’ekola okubayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (1Ti 3:4, 11) Abakyala ng’abo abalungi tebakoma ku kusiimibwa baami baabwe, naye era n’ekibiina kibasiima nnyo.
Omukyala omulungi ayamba omwami we okuweereza obulungi . . .
-
ng’ayogera naye mu ngeri emuzzaamu amaanyi.
—Nge 31:26 -
ng’amuwa ebiseera eby’okukola emirimu gy’ekibiina.
—1Se 2:7, 8 -
ng’aba mumativu n’ebintu bye balina.
—1Ti 6:8 -
nga tamubuuza bikwata ku nsonga z’ekibiina ezirina okusigala nga za kyama.
—1Ti 2:11, 12; 1Pe 4:15