Abazze ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu mu Malawi balaba JW Broadcasting

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Noovemba 2019

Bye Tuyinza Okwogerako

Bye tuyinza okwogerako ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu n’ebyo Katonda by’asuubizza okukola mu biseera eby’omu maaso.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Temwagalanga Nsi oba Ebintu Ebiri mu Nsi

Biki ebinaatuyamba obutatwalirizibwa nsi n’ebintu byamu ebisobola okutuggya ku Yakuwa?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga

Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okubayamba okukola embaga etajja kubaleetera kulumizibwa muntu waabwe ow’omunda oba okwejjusa?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Tulina Okufuba Okusigala mu Kukkiriza

Tuyinza tutya ‘okulwanirira ennyo okukkiriza’?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Mmanyi Ebikolwa Byo”

Yesu amanyi buli kimu ekikolebwa mu kibiina era alina obuyinza ku bakadde mu kibiina.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga

Lwaki buli lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu lubaamu ebintu bye tuba twetaaga? Kiki ekireetera enkuŋŋaana ez’awakati mu wiiki okuba nga zizzaamu amaanyi era nga zirimu ebintu ebituganyula mu bulamu?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Abeebagazi b’Embalaasi Abana

Leero ebintu ebikiikirirwa abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu Okubikkulirwa weebiri. Bakiikirira ki?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu

Tuyinza tutya okuwaayo okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa, mu kitundu kyaffe ne mu nsi yonna?