Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBIKKULIRWA 1-3

“Mmanyi Ebikolwa Byo”

“Mmanyi Ebikolwa Byo”

1:20; 2:1, 2

  • “Emmunyeenye omusanvu”: Abakadde abaafukibwako amafuta awamu n’abakadde abalala bonna

  • “Mu mukono [gwa Yesu] ogwa ddyo”: Yesu alina obuyinza ku mmunyeenye era aziwa obulagirizi. Yesu bw’alaba nga waliwo omukadde eyeetaaga okukangavvulwa, akikola nga bw’aba asazeewo era mu kiseera kye ekituufu

  • “Ebikondo by’ettaala ebya zzaabu omusanvu”: Ebibiina. Ng’ettaala eyabanga ku kikondo bwe yamulisanga mu weema entukuvu ne mu baamu ekitangaala, n’ebibiina Ebikristaayo biwa ekitangaala eky’eby’omwoyo. (Mat 5:14) Yesu “atambulira wakati” w’ebikondo by’ettaala mu ngeri nti alabirira emirimu egikolebwa ebibiina byonna