Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga

Yakuwa Amanyi Bye Twetaaga

Omuddu omwesigwa era ow’amagezi atuwa emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu.” Ekyo kiraga nti Yakuwa, awa omuddu oyo obulagirizi, amanyi bye twetaaga. (Mat 24:45) Ng’ekyokulabirako, enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu awamu n’enkuŋŋaana eza wakati mu wiiki ziraga nti Yakuwa atulabirira mu by’omwoyo.

MULABE VIDIYO, LIPOOTA Y’AKAKIIKO AKAYIGIRIZA EYA 2017, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ani asaanidde okutenderezebwa olw’enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu ezijjira mu kiseera ekituufu, era lwaki?

  • Okuteekateeka olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu kutandika ddi?

  • Ensonga ezinaayogerwako ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu zirondebwa zitya?

  • Mirimu ki egizingirwa mu kuteekateeka enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu?

  • Enkola ze bakozesa okuyigiriza mu ssomero lya Gireyaadi zikozesebwa zitya nga bateekateeka eby’okusoma mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki?

  • Ebitongole eby’enjawulo bikolera bitya awamu okuteekateeka akatabo k’enkuŋŋaana?

Owulira otya bw’olowooza ku mmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa?