Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu

Yakuwa Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu

2 Abakkolinso 9:7 wagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Leero, waliwo engeri ennyangu ku mukutu gwaffe ze tusobola okukozesa okuwaayo okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa, mu kitundu kyaffe ne mu nsi yonna.

MULABE VIDIYO, ENGERI Y’OKUWAAYO NGA TUKOZESA OMUKUTU GWAFFE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Tuyinza tutya okumanya engeri ez’enjawulo ez’okuwaayo eziri ku mukutu gwaffe ezikozesebwa mu nsi yaffe?

  • Ab’oluganda abamu baganyuddwa batya mu kuwaayo nga bakozesa omukutu gwaffe?

  • Ngeri ki ez’enjawulo ze tuyinza okukozesa okuwaayo?

  • Kiki kye tuyinza okukola singa tuba tetumanyi ngeri ya kuwaayo nga tukozesa omukutu gwaffe?