Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga

Weewale Okutwalirizibwa Omwoyo gw’Ensi ng’Otegeka Embaga

Abakristaayo abateekateeka okukola embaga balina ebintu bingi bye balina okusalawo. Bayinza okupikirizibwa okukola embaga ey’ebbeeyi ng’ezo ezitera okukolebwa mu kitundu kyabwe. Mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okuba n’endowooza zaabwe ku ebyo ebirina okukolebwa ku mbaga. Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okubayamba okukola embaga etajja kubaleetera kulumizibwa muntu waabwe ow’omunda oba okwejjusa?

MULABE VIDIYO, EMIKOLO GY’EMBAGA EGISANYUSA YAKUWA, OLUVANNYUMBA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Emisingi egiri mu byawandiikibwa bino gyayamba gitya Nick ne Juliana?

  • Lwaki abo abagenda okukola embaga basaanidde okulonda ow’oluganda omukulu mu by’omwoyo okuba “kalabaalaba” w’omukolo gwabwe?​—Yok 2:9, 10.

  • Nick ne Juliana baasinziira ku ki okusalawo ebinaakolebwa ku mbaga yaabwe?

  • Ani avunaanyizibwa okusalawo ekyenkomeredde ku bikwata ku mukolo gw’embaga?​—w06 11/1 lup. 19 ¶10.