Noovemba 16-22
EBY’ABALEEVI 4-5
Oluyimba 84 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Wa Yakuwa Ekisingayo Obulungi”: (Ddak. 10)
Lev 5:5, 6—Abo abaabanga bakoze ebibi ebimu, baalinanga okuwaayo endiga ento oba embuzi ng’ekiweebwayo olw’omusango (it-2-E lup. 527 ¶9)
Lev 5:7—Abaabanga abaavu nga tebasobola kuwaayo ndiga nto oba mbuzi, baawangayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri (w09-E 6/1 lup. 26 ¶3)
Lev 5:11—Abaabanga abaavu ennyo nga tebasobola kuwaayo mayiba oba njiibwa, baawangayo ekitundu kimu kya kkumi ekya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse (w09-E 6/1 lup. 26 ¶4)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lev 5:1—Ebiri mu lunyiriri luno bikwata bitya ku Bakristaayo? (w16.02 lup. 30 ¶14)
Lev 5:15, 16—Omuntu yeeyisanga atya mu ngeri ‘etali ya bwesigwa n’ayonoona mu butali bugenderevu olw’okukozesa obubi ebintu bya Yakuwa ebitukuvu’? (it-1-E lup. 1130 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lev 4:27–5:4 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, naye kozesa Isaaya 9:6, 7. (th essomo 12)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, naye kozesa Zabbuli 72:16. (th essomo 4)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) lvs lup. 209 ¶22-23 (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Atuyambye Okuweerereza Awamu nga Bapayoniya Okumala Emyaka 60: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Nkizo ki era mikisa ki Takako ne Hisako bye bafunye mu buweereza bwabwe? Kizibu ki Takako ky’alina, era kiki ekimuyambye okukigumira? Biki ebibayambye okuba abasanyufu era abamativu? Ekyokulabirako kyabwe kiraga kitya obutuufu bw’ebigambo ebiri mu byawandiikibwa bino: Engero 25:11; Omubuulizi 12:1; Abebbulaniya 6:10?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) rr “Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi” ne “Ebintu Bye Weetaaga Okumanya”
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 95 n’Okusaba