Wa Yakuwa Ekisingayo Obulungi
Okuba omwavu tekyalemesanga Muyisirayiri yenna kuzzaawo nkolagana ye ne Yakuwa. N’Omuyisirayiri omwavu ennyo yali asobola okuwa Yakuwa ekiweebwayo ekikkirizibwa, kasita kyabanga nga kye kisingayo obulungi. Baali basobola okuwaayo obuwunga, naye Yakuwa yali ayagala “obutaliimu mpulunguse,” ng’obwo omuntu bwe yafumbiranga omugenyi ow’ekitiibwa. (Lub 18:6) Ne leero, Yakuwa ayagala “ssaddaaka ey’okutendereza” gye tumuwa ebe nga y’esingayo obulungi, ne bwe kiba nti embeera eyinza obutatusobozesa kukola kye twandyagadde.—Beb 13:15.
Ekyo kiyinza kitya okukuzzaamu amaanyi bw’oba nga tokyasobola kuweereza Yakuwa nga bwe wakolanga edda, oboolyawo olw’obulwadde?