Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Noovemba 2-8

OKUVA 39-40

Noovemba 2-8

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Musa Yagoberera Obulagirizi Bwonna Obwamuweebwa”: (Ddak. 10)

    • Kuv 39:32​—Musa yagoberera obulagirizi bwonna Yakuwa bwe yamuwa obukwata ku kuzimba weema entukuvu (w11 9/15 lup. 27 ¶13)

    • Kuv 39:43​—Musa kennyini yakebera weema entukuvu ng’ewedde okuzimbibwa

    • Kuv 40:1, 2, 16​—Musa yasimba weema entukuvu ng’agoberera obulagirizi Yakuwa bwe yali amuwadde (w05 8/1 lup. 13 ¶3)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Kuv 39:34​—Abayisirayiri bayinza kuba nga baafuna batya amaliba amagonvu ge baakozesa nga bazimba weema entukuvu? (it-2-E lup. 884 ¶3)

    • Kuv 40:34​—Ekire bwe kyabikka weema ey’okusisinkaniramu, kyali kiraga ki? (w15 7/15 lup. 21 ¶1)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 39:1-21 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Yimiriza vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza, era obuuze abawuliriza ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okusigala nga tetulina ludda lwe tuwagira singa oyo gwe tuba tubuulira ayagala kwogera ku by’obufuzi.

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu ayagala omuwe endowooza yo ku muntu eyeesimbyewo oba ku nsonga ekwata ku by’obufuzi. (th essomo 12)

  • Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w16.04 lup. 29 ¶8-10​—Omutwe: Tuyinza Tutya Okusigala nga Tetuliiko Ludda Lwe Tuwagira nga Twogera n’Abalala era ne mu Birowoozo Byaffe? (th essomo 14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 123

  • Wuliriza era Otegeere (Mat. 13:16): (Ddak. 15) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Lwaki tekimala kuwulira buwulizi bigambo bya Yakuwa? Ebigambo ebiri mu Makko 4:23, 24 birina makulu ki? Kyakulabirako ki kye tuyinza okukozesa okunnyonnyola Abebbulaniya 2:1? Lwaki tusaanidde okukozesa obulungi obusobozi bwaffe obw’okuwulira?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) jy sul. 139

  • Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)

  • Oluyimba 139 n’Okusaba