Obukakafu Obulaga nti Yakuwa Yasiima Enteekateeka y’Obwakabona
Yakuwa yaleetera omuliro okwokya ssaddaaka eyasooka okuweebwayo ng’obwakabona bwa Alooni bwakateekebwawo. Ekyo kyalaga nti Yakuwa yali akkirizza enteekateeka eyo era ng’agiwagira. Mu ngeri eyo, Yakuwa yayamba Abayisirayiri abaali bakuŋŋaanye okuwagira enteekateeka eyo mu bujjuvu. Leero, Yakuwa akozesa Yesu Kristo nga Kabona Asinga Obukulu. (Beb 9:11, 12) Mu 1919, Yesu yalonda Abakristaayo abatonotono abaafukibwako amafuta okubeera “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat 24:45) Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa asiima era awagira omuddu omwesigwa era ow’amagezi?
-
Wadde nga waliwo okuyigganyizibwa kungi, omuddu omwesigwa ekyeyongera okuwa abantu ba Yakuwa emmere ey’eby’omwoyo
-
Nga bwe kyalagulwa, amawulire amalungi gabuulirwa “mu nsi yonna.”—Mat 24:14
Tuyinza tutya okuwagira omuddu omwesigwa mu bujjuvu?