OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu
LWAKI KIKULU: Okubuulira nga tukozesa essimu y’emu ku ngeri gye tusobola “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.” (Bik 20:24) * Etusobozesa okubuulira abantu be tutasobola kutuukako olw’embeera ezitali zimu.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Weeteeketeeke. Londa ensonga etuukirawo. Oluvannyuma wandiika ensonga enkulu z’oyagala okwogerako. Ate era oyinza okuwandiika mesegi ennyimpimpi eraga ensonga lwaki okubidde omuntu singa aba takutte ssimu yo. Kirungi okutuula ku mmeeza ng’olina by’ogenda okwogera n’eby’okukozesa gamba ng’essimu eriko JW Library® oba jw.org®
-
Kkakkana. Yogera mu ngeri eya bulijjo. Ssaako akamwenyumwenyu era kozesa ebitundu byo eby’omubiri ng’olinga ayogera n’omuntu akulaba. Weewale okusiriikirira we kiteetaagisa. Kiba kirungi okubuulira ng’oli n’abalala. Omuntu gw’obuulira bw’akubuuza ekibuuzo kiddemu mu ddoboozi eriwulikika, gw’obuulira naye asobole okukuyamba okufuna eky’okuddamu
-
Lekawo kye munaayogerako ku mulundi oguddako. Omuntu bw’alaga okusiima, osobola okulekawo ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeemu okumukubira essimu. Ate era osobola okumusuubiza nti ojja kumuweereza akatabo ng’okozesa e-mail, mesegi, oba okukamutwalira. Oba osobola okumusuubiza nti ojja kumuweereza vidiyo oba ekitundu eky’okusoma ng’okozesa mesegi oba e-mail. Bwe kiba kituukirawo, mubuulire ku kitundu eky’okuyigirizibwa Bayibuli ekiri ku mukutu gwaffe
^ lup. 3 Bwe kiba nga kikkirizibwa mu kitundu kyammwe okubuulira nga tukozesa essimu, osaanidde okugoberera amateeka agakwata ku ngeri y’okukozesaamu ebintu ebikwata ku bantu abalala.