Noovemba 9-15
EBY’ABALEEVI 1-3
Oluyimba 20 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ekigendererwa ky’Ebiweebwayo”: (Ddak. 10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lev 2:13—Lwaki omunnyo gwalinanga okuteekebwa mu “buli kiweebwayo”? (Ezk 43:24; w04 6/1 lup. 20 ¶1)
Lev 3:17—Lwaki Abayisirayiri tebakkirizibwanga kulya masavu, era ekyo kituyigiriza ki? (it-1-E lup. 813; w04 6/1 lup. 20 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lev 1:1-17 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Yimiriza vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza, era obuuze abawuliriza ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 11)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“‘Obusente Bubiri’ obw’Omuwendo Ennyo mu Maaso ga Yakuwa”: (Ddak. 15) Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa mukadde. Mulabe vidiyo, ‘Okubaako Kye Tuwa Yakuwa.’ Soma ebbaluwa evudde ku ofiisi y’ettabi esiima ababuulizi olw’ebyo bye baawaayo mu mwaka gw’obuweereza oguwedde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) jy lup. 317
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 120 n’Okusaba