BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okuyiga Okwesomesa
Okusobola okukola ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, n’okukula mu by’omwoyo, abayizi ba Bayibuli tebalina kukoma ku kuyiga mazima ge tubayigiriza. (Mat 5:3; Beb 5:12–6:2) Balina n’okuyiga okwesomesa.
Okuviira ddala ku ntandikwa, laga omuyizi wo engeri y’okutegekamu ebyo bye muba mugenda okusoma, era omukubirize okutegekanga. (mwb18.03 lup. 6) Mukubirize okusooka okusabanga buli lw’aba agenda okwesomesa. Muyambe okukozesa ebyo ebiri ku tabbuleeti oba ku masimu okwesomesa. Muyambe okumanya engeri gy’asobola okufunangamu ebipya ebiba biteekeddwa ku jw.org ne ku JW Broadcasting®. Genda ng’omuyigiriza okusoma Bayibuli buli lunaku, okutegeka enkuŋŋaana, n’okunoonyereza ku bibuuzo by’aba alina. Muyambe okufumiitiriza ku ebyo by’ayiga.
MULABE VIDIYO YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUYIGA OKWESOMESA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Anita yayamba atya Shanita okukitegeera nti okuyiga Bayibuli kisingawo ku kumanya obumanya eby’okuddamu?
-
Kiki ekyayamba Shanita okukitegeera nti amateeka Yakuwa ge yatuwa agakwata ku kwewala ebikolwa eby’obugwenyufu ga muganyulo gye tuli?
-
Kiki Shanita kye yategeera ku bikwata ku kufumiitiriza?