Ddesemba 6-12
EKYABALAMUZI 6-7
Oluyimba 38 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Genda n’Amaanyi g’Olina”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Bal 6:27—Ekyokulabirako kya Gidiyoni kiyinza kitya okutuyamba mu buweereza? (w05 3/1 lup. 10 ¶6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Bal 6:1-16 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Bayibuli—Bar 15:4. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragibwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa, Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 6)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa, Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era omulage engeri gy’ayinza okufunamu brocuwa eyo ku JW Library oba ku jw.org. (th essomo 15)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Omwoyo Omutukuvu Gwabasobozesa Okukola Omulimu Ogutaali Mwangu”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okukola Firimu “The New World Society in Action.”
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 17 ¶1-8, vidiyo eyanjula essuula
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 8 n’Okusaba