OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Twebaza Yakuwa olw’Okwagala Kwe Mwoleka
Abakristaayo b’omu kibiina ky’e Ssessalonika baalaga bakkiriza bannaabwe okwagala wadde nga baali boolekagana n’ebizibu. (2Se 1:3, 4) Ne leero, abantu ba Yakuwa balaga bakkiriza bannaabwe mu nsi yonna okwagala mu ngeri y’emu. Ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe “Engeri Ssente z’Owaayo gye Zikozesebwamu” kiraga engeri ssente ze muwaayo gye ziyambamu bakkiriza bannaffe mu biseera ebizibu. Tubeebaza nnyo olw’okwagala kwe mwoleka n’olw’okuba abagabi.
MULABE VIDIYO, BULIJJO ‘TWEBAZA KATONDA KU LWAMMWE,’ OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
• Ebimu ku bintu ssente ze tuwaayo bye zikola bye biri wa?
• Engeri esingayo obulungi ey’okuwaayo ssente okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe abali mu bwetaavu y’eruwa?—Laba n’ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe “Okuyamba Abo Abali mu Bwetaavu”