EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Yagabanyaamu Ensi mu Ngeri ey’Amagezi
Yakuwa yalagira nti buli kika kiweebwe ekitundu kyakyo eky’obusika nga bayitira mu kukuba obululu (Yos 18:10; it-1-E lup. 359 ¶1)
Yakuwa yakakasa nti obunnabbi Yakobo bwe yawa ng’anaatera okufa butuukirizibwa (Yos 19:1; it-1-E lup. 1200 ¶1)
Yakuwa yaleka Abayisirayiri okusalawo obunene bw’ekitundu buli kika kye kyandifunye (Yos 19:9; it-1-E lup. 359 ¶2)
Ensi yagabanyizibwamu mu ngeri etaaleetawo buggya oba okukaayana mu bika by’Abayisirayiri. Ekyo kikulaga ki ku ngeri Yakuwa gy’ajja okutuwaamu obulagirizi mu nsi empya?