Noovemba 15-21
YOSWA 23-24
Oluyimba 50 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okubuulirira Yoswa Kwe Yasembayo Okuwa Abayisirayiri”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yos 24:2—Teera, kitaawe wa Ibulayimu, yali asinza ebifaananyi? (w05 4/1 lup. 32 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yos 24:19-33 (th essomo 11)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 20)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lffi essomo 01, mu bufunze, okwejjukanya, n’eky’okukolako (th essomo 3)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weewale Emikwano Emibi ku Mulimu: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Weewale Ebiyinza Okukuviirako Obutaba Mwesigwa—Emikwano Emibi. Oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Emikwano emibi mwannyinaffe gye yalina ku mulimu gyamukolako ki? Nkyukakyuka ki ze yakola era ekyo kyamuyamba kitya? Biki by’oyize mu vidiyo eyo ebikwata ku kwewala emikwano emibi?
Funa Emikwano mu Bifo Ebitasuubirwa: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Biki ebyaleetera Akil okufuna emikwano emibi ku ssomero? Kiki ekyamuyamba okufuna emikwano emirungi mu kibiina? Biki by’oyize mu vidiyo eyo ebikwata ku ngeri gy’oyinza okufunamu emikwano emirungi?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 16 ¶1-8, vidiyo eyanjula essuula
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 39 n’Okusaba