Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ebinaatuyamba Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira

Ebinaatuyamba Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira

Okufaananako enkuŋŋaana endala, olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira kye kimu ku ebyo Yakuwa by’atuteereddewo okutuyamba okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb 10:24, 25) Olukuŋŋaana olwo lulina okumala eddakiika eziri wakati w’ettaano n’omusanvu, ng’omwo mwe muli okwawulamu obubinja, okugaba ekitundu eky’okubuuliramu, era n’okusaba. (Olukuŋŋaana olwo bwe lubaawo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olulala, lusaanidde n’obutaweza ddakiika ezo.) Oyo akubiriza olukuŋŋaana asaanidde okuteekateeka eky’okwogerako ekinaayamba abo abagenda okubuulira ku lunaku olwo. Ng’ekyokulabirako, ku Lwomukaaga nga bangi ku abo abaliwo lwe basoose okubuulira mu wiiki eyo, kiyinza okuba eky’omuganyulo okwogera ku ekyo kyokka kye bayinza okwogerako ku olwo. Biki ebirala ebisobola okwogerwako mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira?

  • Bye tuyinza okwogerako ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

  • Engeri y’okutandika okunyumya n’abantu nga tukozesa ebyo ebyakabaawo oba ebiri mu mawulire

  • Engeri gye tuyinza okuddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyaffe

  • Engeri gye tuyinza okuddamu omuntu atakkiriza nti Katonda gyali, atakkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa, ayogera olulimi olulala, oba omuntu ali mu ddiini etamanyiddwa nnyo mu kitundu kyaffe

  • Engeri y’okukozesaamu ekitundu ekimu ekiri ku jw.org, ku JW Library®, oba mu Bayibuli

  • Engeri y’okukozesaamu ekimu ku ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli

  • Engeri y’okwenyigira mu nkola emu ey’obuweereza, gamba, ng’okubuulira nga tukozesa essimu, okuwandiika amabaluwa, okubuulira mu bifo ebya lukale, okuddiŋŋana, oba okuyigiriza abantu Bayibuli

  • Okwejjukanya ebikwata ku by’okwerinda, okutuukana n’embeera, okweyisa obulungi mu buweereza, okuba n’endowooza ennuŋŋamu, oba ebirala ebiringa ebyo

  • Essomo oba vidiyo okuva mu brocuwa Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza

  • Engeri y’okuyambamu oyo gwe tubuulira naye n’okumuzzaamu amaanyi

  • Ekyawandiikibwa ekikwata ku mulimu gw’okubuulira oba ekyokulabirako ekizzaamu amaanyi ekikwata ku buweereza