Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Biruubirirwa Ki Bannyinaffe Bye Basobola Okweteerawo?

Biruubirirwa Ki Bannyinaffe Bye Basobola Okweteerawo?

Bannyinaffe balina kinene nnyo kye bakola mu mulimu gw’Obwakabaka. (Zb 68:11) Balina abantu bangi be bayigiriza Bayibuli, era bangi baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Ate era bannyinaffe nkumi na nkumi baweereza ng’Ababeseri, ng’abaminsani, bayambako mu mulimu gw’okuzimba, ate abalala bayambako mu mulimu gw’okuvvuunula. Ate bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo banyweza amaka gaabwe n’ekibiina. (Nge 14:1) Wadde nga bannyinaffe tebasobola kuweereza ng’abakadde oba ng’abaweereza, basobola okweteerawo ebiruubirirwa mu kibiina. Bw’oba ng’oli mwannyinaffe, biruubirirwa ki by’osobola okweteerawo mu kibiina?

  • Okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo.​—1Ti 3:11; 1Pe 3:3-6

  • Okuyamba bannyinaffe abatalina bumanyirivu.​—Tit 2:3-5

  • Okulongoosa mu buweereza bwo n’okwongera ku biseera by’omala ng’obuulira

  • Okuyiga olulimi olulala

  • Okugenda awali obwetaavu obusingako

  • Okusaba okuweereza ku Beseri oba okuyambako mu kuzimba ebifo mwe tusinziza

  • Okusaba okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka

MULABE VIDIYO, “ABAKYALA ABAKOLA ENNYO MU MUKAMA WAFFE,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

  • Ebyo buli omu ku bannyinnaffe by’ayogedde bikuzzizzaamu bitya amaanyi?