EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Obugumiikiriza bwa Yakuwa Buliko Ekkomo
Yakuwa yaleka Bwasuli okuwangula Isirayiri (2Sk 17:5, 6; it-2-E lup. 908 ¶5)
Yakuwa yabonereza abantu be kubanga beeyongera okukola ebintu ebimunyiiza (2Sk 17:9-12; it-1-E lup. 414-415)
Yakuwa yali mugumiikiriza eri Abayisirayiri era yabalabula enfunda n’enfunda (2Sk 17:13, 14)
Kitaffe ow’omu ggulu mugumiikiriza nnyo eri abantu abatatuukiridde. (2Pe 3:9) Kyokka okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuzikiriza abantu ababi. Lwaki ekyo kisaanidde okutuleetera okuwuliriza okukangavvula kwe tuweebwa era n’okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu?