Ddesemba 19-25
2 BASSEKABAKA 18-19
Oluyimba 148 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Engeri Abo Abatuziyiza Gye Bagezaako Okutumalamu Amaanyi”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
2Sk 19:37—Olunyiriri luno lulaga lutya nti tetusaanidde kumala gakkiririza mu ebyo abayiikuula ebintu eby’edda bye bagamba? (it-1-E lup. 155 ¶4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2Sk 18:1-12 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana, era beera ng’amulaga vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 1)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere, era omuwe kaadi eyogera ku nteekateeka eyo. (th essomo 2)
Okwogera: (Ddak. 5) w20.11 lup. 15 ¶14—Omutwe: Tuyinza Tutya Okusabira Abo Abayigganyizibwa? (th essomo 14)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Musanyuke nga Muyigganyizibwa”: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Tusobola Okuba Abasanyufu Wadde nga Tuyigganyizibwa.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 7)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 32 akatundu 1-4 n’ekipande, “Engeri Ekirooto Ekikwata ku Muti Gye Kikwata ku Bwakabaka bwa Katonda”
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 22 n’Okusaba