Noovemba 28–Ddesemba 4
2 BASSEKABAKA 11-12
Oluyimba 59 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omukazi Omubi era Eyali Ayagala Ennyo Ebitiibwa Abonerezebwa”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
2Sk 12:1—Lwaki kyali kikulu nnyo okuba nti Yakuwa yakuuma Yekowaasi n’atattibwa ng’akyali muto? (it-1-E lup. 1265-1266)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 2Sk 11:1-12 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana, era beera ng’amulaga vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 4)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere era omuwe brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Beera ng’amulaga vidiyo, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 3)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 08 akatundu akali wansi w’omutwe Yiga Ebisingawo, n’akatundu 4 (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Kiki Ekyandireetedde Omukristaayo Okuluubirira Enkizo mu Kibiina?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Lwaki Wandiruubiridde Enkizo? (1Ti 3:1)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 29
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 77 n’Okusaba