OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okuba Abeesigwa mu Birowoozo
Tukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa si mu ebyo byokka bye twogera ne bye tukola, naye ne mu ebyo bye tulowooza. (Zb 19:14) N’olwekyo Bayibuli etukubiriza okulowooza ku bintu ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa. (Baf 4:8) Kya lwatu nti tusobola okufuna ebirowoozo ebibi. Naye okwefuga kujja kutuyamba okubyeggyamu, tulowooze ku bintu ebirungi. Okulowooza ku bintu ebirungi kijja kutuyamba okweyongera okukola ebintu ebirungi.—Mak 7:21-23.
Ku buli kimu ku byawandiikibwa bino wammanga wandiikawo ekintu kye tusaanidde okwewala kulowoozaako: