Ddesemba 25-31
YOBU 30-31
Oluyimba 28 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Engeri Yobu gye Yasigala nga Muyonjo mu Mpisa”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yob 31:35—Tuyinza tutya okwewala okubeera ng’abo abaali beeyita mikwano gya Yobu singa omuntu atubuulira ku bizibu by’alina? (w05-E 11/15 lup. 11 ¶3)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yob 31:15-40 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, era omulekere kkaadi eraga enteekateeka y’okuyigiriza Bayibuli. (th essomo 1)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana, era obe ng’amulaga vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 11)
Okwogera: (Ddak. 5) g16.4 lup. 8-9—Omutwe: Nnyinza Ntya Okunnyonnyola Omuntu ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Kulya Ebisiyaga? (th essomo 14)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Ensonga Lwaki Kibi Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu”: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 8)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) bt sul. 4 ¶1-8
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 74 n’Okusaba