Ddesemba 4-10
YOBU 22-24
Oluyimba 49 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omuntu Asobola Okuba ow’Omugaso eri Katonda?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yob 23:13—Ekyokulabirako Yakuwa ky’atuteerawo mu ngeri gy’akolamu ebintu, kiyinza kitya okutuyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’eby’omwoyo? (w04 7/15 lup. 21-22)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yob 22:1-22 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ebikwata ku mukutu gwaffe jw.org, era omuwe kkaadi eragirira abantu ku mukutu ogwo. (th essomo 11)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 2)
Okwogera: (Ddak. 5) w21.05 lup. 18-19 ¶17-20—Omutwe: Bwe Tuba n’Endowooza Ennuŋŋamu Yakuwa Yeeyongera Okutukozesa. (th essomo 20)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Basobole Okusanyusa Yakuwa”: (Ddak. 10) Mulabe vidiyo oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 5)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) bt sul. 3 ¶1-3, obusanduuko ku lupapula 25, 26, 27, 28, ne 29
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 25 n’Okusaba