Noovemba 20-26
YOBU 18-19
Oluyimba 44 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Toyabuliranga Bakkiriza Banno”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yob 19:1, 2—Kiki kye tuyigira ku ngeri Yobu gye yaddamu abo abaali beeyita mikwano gye abaamugamba ebigambo ebitaali bya kisa? (w94-E 10/1 lup. 32)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yob 18:1-21 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 12)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muyite ajje mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma obe ng’amulaga vidiyo, Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 3)
Okwogera: (Ddak. 5) w20.10 lup. 17 ¶10-11—Omutwe: Yamba Omuyizi Wo Okufuna Emikwano mu Kibiina. (th essomo 20)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Yamba Abalala: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Bwe kiba kisoboka buuza abaana be wategese nga bukyali ebibuuzo bino: Abaana bayinza batya okuyamba abalala?
Kiki ky’osobola okukola okuyamba abalala?
“Enteekateeka ey’Okuzzaamu Ababeseri Amaanyi”: (Ddak. 10) Mulabe vidiyo oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) bt sul. 2 ¶8-15
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 63 n’Okusaba