OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera ‘Mumativu n’Ebintu by’Olina’”
Bwe tuba abaavu, tuyinza okusikirizibwa okukola ekintu ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufuna omulimu ogusasula ssente ennyingi naye nga gugenda kukifuula kizibu gye tuli okuweereza Yakuwa. Okufumiitiriza ku Abebbulaniya 13:5 kijja kutuyamba.
“Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente”
-
Saba Yakuwa era weekebere mu bwesimbu olabe endowooza gy’olina ku ssente; lowooza ku kyokulabirako ky’oteerawo abaana bo.—g-E 9/15 lup. 6.
“Mubeerenga bamativu ne bye mulina”
-
Manya ebyo ddala bye weetaaga.—w16.07 lup. 7 ¶1-2.
“Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira”
-
Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byo singa weeyongera okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo.—w14 4/15 lup. 21 ¶17.
MULABE VIDIYO EBIYAMBYE BAGANDA BAFFE OKUBA N’EMIREMBE WADDE NGA TEBALI BULUNGI MU BYA NFUNA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
Kiki ky’oyidde ku Miguel Novoa?