Noovemba 6-12
YOBU 13-14
Oluyimba 151 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omuntu bw’Afa, Asobola Okuddamu Okuba Omulamu?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yob 13:12—Lwaki ebigambo abaali beeyita mikwano gya Yobu bye baayogera Yobu yabigeraageranya ku ‘ngero eziringa evvu’? (it-1-E lup. 191)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yob 13:1-28 (th essomo 12)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Omulundi Ogusooka: Bayibuli—2Ti 3:16, 17. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akatabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 2)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff okwejjukanya ekitundu 1, ekibuuzo 1-5 (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Baako ky’Oterekawo”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Kya kukubirizibwa mukadde. Siima ab’oluganda olw’okuwaayo ssente okuwagira omulimu gwa Yakuwa.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) bt sul. 1 ¶16-21
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 76 n’Okusaba