Ddesemba 23-29
ZABBULI 119:121-176
Oluyimba 31 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Engeri gy’Oyinza Okwewala Okulumirizibwa Omutima
(Ddak. 10)
Yagala ebiragiro bya Katonda (Zb 119:127; w18.06 lup. 17 ¶5-6)
Kyawa ekibi (Zb 119:128; w93-E 4/15 lup. 17 ¶12)
Wuliriza Yakuwa era weewale okukola ensobi ‘ng’atalina bumanyirivu’ (Zb 119:130, 133; Nge 22:3)
WEEBUUZE, ‘Bwe kituuka ku kwagala amateeka ga Yakuwa n’okukyawa ekibi, wa we nnina okulongoosaamu?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 119:160—Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, tusaanidde kuba bakakafu ku ki? (w23.01 lup. 2 ¶2)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 119:121-152 (th essomo 2)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. (lmd essomo 1 akatundu 5)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Laga omuntu engeri gy’asobola okuzuulamu ebintu ebiyinza okumukwatako ku jw.org. (lmd essomo 8 akatundu 3)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
(Ddak. 5) Kubaganya ebirowoozo n’omuyizi wa Bayibuli atatera kubaawo mu nkuŋŋaana. (lmd essomo 12 akatundu 4)
Oluyimba 121
7. Tokkiriza Ssente Kukuleetera Bulumi Buteetaagisa
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Abo abaagala ennyo okufuna ssente “beereetera obulumi bungi.” (1Ti 6:9, 10) Obumu ku bulumi bwe tujja okwereetako singa twagala nnyo ssente, era ne tuzitwala ng’ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe, bwogerwako wammanga.
-
Tetujja kuba na nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa. —Mat 6:24
-
Tetujja kuba bamativu.—Mub 5:10
-
Kijja kutubeerera kizibu okwewala okukola ebintu ebibi nga mw’otwalidde okulimba, okubba, n’obukuusa. (Nge 28:20) Bwe twenyigira mu bikolwa ng’ebyo tujja kulumirizibwa omuntu waffe ow’omunda, erinnya lyaffe lijja kwonooneka, era tujja kufiirwa enkolagana yaffe ne Katonda
Soma Abebbulaniya 13:5, era mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Bwe kituuka ku ssente, kiki kye tusaanidde okwewala ekinaatuyamba obutalumirizibwa mutima, era lwaki?
Wadde nga tetwagala nnyo ssente, tujja kulumirizibwa omutima singa tetuzikozesa bulungi.
Mulabe vidiyo VIDIYO YA BUKATUUNI Engeri gy’Oyinza Okukozesaamu Obulungi Ssente Zo. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Lwaki tusaanidde okukola embalirira era tuyinza tutya okugikola?
-
Lwaki kirungi okubaako ssente z’oterekawo?
-
Lwaki kya magezi okwewala amabanja agateetaagisa?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 20 ¶1-7, ennyanjula y’ekitundu 7