Ddesemba 16-22
ZABBULI 119:57-120
Oluyimba 129 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Engeri gy’Oyinza Okugumiikiriza ng’Olina Ebizibu
(Ddak. 10)
Weeyongere okwesomesa Ekigambo kya Katonda (Zb 119:61; w06 7/1 lup. 12 ¶2; w00 12/1 lup. 24 ¶3)
Kkiriza ebizibu by’oyolekagana nabyo okukutereeza (Zb 119:71; w06 10/1 lup. 30 ¶4)
Saba Yakuwa akubudeebude (Zb 119:76; w17.07 lup. 13 ¶3, 5)
WEEBUUZE, ‘Yakuwa annyambye atya okugumiikiriza nga njolekagana n’ebizibu?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 119:96—Ekyawandiikibwa ekyo oboolyawo kitegeeza ki? (w06 10/1 lup. 30 ¶5)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 119:57-80 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mulage omukutu gwaffe jw.org, era omuwe kaadi eragirira abantu ku mukutu ogwo. (lmd essomo 2 akatundu 5)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mwanirize okubaawo ku kwogera eri bonna okunaddako. Mulage vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? (lmd essomo 8 akatundu 3)
6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 5) Okulaga ekyokulabirako. ijwbq 157—Omutwe: Bayibuli Eyogera Ki ku Butyabaga? (lmd essomo 3 akatundu 3)
Oluyimba 128
7. Yakuwa Atuyamba Okugumiikiriza
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Okugumiikiriza kwe kwolekagana n’ekizibu n’otoggwaamu maanyi. Kizingiramu okuguma, okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kizibu ky’oyolekagana nakyo, n’okwesunga ekiseera lwe waliba nga tewakyaliwo bizibu. Bwe tuba abagumiikiriza, tetujja ‘kuddirira’ mu buweereza bwaffe eri Yakuwa nga tufunye ebizibu. (Beb 10:36-39) Yakuwa mwetegefu okutuyamba okugumiikiriza.—Beb 13:6.
Ku buli kimu ku Byawandiikibwa bino wammanga, wandiikawo engeri Yakuwa gy’atuyamba okugumiikiriza.
Mulabe VIDIYO Sabira Nnyo Abo Aboolekagana n’Ebizibu. Oluvannyuma buuza abawuliriza:
-
Tuyinza tutya okukozesa omukutu gwaffe jw.org okumanya bakkiriza bannaffe aboolekagana n’ebizibu?
-
Abazadde bayinza batya okutendeka abaana baabwe okusabira abalala era miganyulo ki egivaamu?
-
Lwaki kikulu okusaba Yakuwa ayambe bakkiriza bannaffe basobole okugumiikiriza?
-
Okusabira abalala kiyinza kitya okutuyamba okugumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 19 ¶14-20, akasanduuko ku lup. 174