Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Noovemba 18-24

ZABBULI 107-108

Noovemba 18-24

Oluyimba 7 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Mwebaze Yakuwa, Kubanga Mulungi”

(Ddak. 10)

Yakuwa atununudde okuva mu nsi ya Sitaani nga bwe yanunula Abayisirayiri okuva e Babulooni (Zb 107:​1, 2; Bak 1:​13, 14)

Okusiima Yakuwa kituleetera okumutendereza nga tuli wamu n’ekibiina (Zb 107:​31, 32; w07 5/1 lup. 8 ¶2)

Okulowooza ku bintu Yakuwa by’atukoledde kituleetera okwongera okumusiima (Zb 107:43; w15 1/15 lup. 9 ¶4)

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 108:9—Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaviirako Mowaabu okwogerwako ‘ng’ebbenseni Katonda mw’anaabira’? (it-2-E lup. 420 ¶4)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. (lmd essomo 1 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli era omuwe kaadi eraga enteekateeka eyo. (lmd essomo 9 akatundu 3)

6. Okwogera

(Ddak. 5) ijwyp 90-E—Omutwe: Nnyinza Ntya Okwewala Endowooza Emalamu Amaanyi? (th essomo 14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 46

7. Tuyimba Okwebaza Yakuwa

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Yakuwa bwe yanunula Abayisirayiri okuva mu mikono gy’eggye lya Misiri eryali ery’amaanyi ku nnyanja emmyufu, Abayisirayiri baasanyuka nnyo era ne bamuyimbira oluyimba. (Kuv 15:​1-19) Abasajja be baawoma omutwe mu kuyimba oluyimba olwo olupya. (Kuv 15:21) Yesu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo baayimbanga ennyimba ez’okutendereza Katonda. (Mat 26:30; Bak 3:16) Leero naffe tukiraga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukoledde, nga tuyimba mu nkuŋŋaana entono n’ennene. Ng’ekyokulabirako, oluyimba lwe tuyimbye olulina omutwe, “Tukwebaza Yakuwa,” lubadde luyimbibwa mu nkuŋŋaana zaffe okuviira ddala mu 1966.

Mu buwangwa obumu, abasajja bayinza okuswala okuyimba mu lujjudde. Abalala bayinza okutya okuyimba olw’okuba balowooza nti amaloboozi gaabwe si malungi. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti okuyimba mu nkuŋŋaana kitundu kya kusinza kwaffe. Ekibiina kya Yakuwa kifuba nnyo okuyiiya ennyimba ennungi n’okulonda ennyimba eziba zituukirawo mu buli lukuŋŋaana. Ffe kye tulina okukola kyokka, kwe kugatta amaloboozi gaffe ne tuyimbira wamu okukiraga nti twagala Kitaffe ow’omu ggulu era nti tusiima by’atukolera.

Mulabe VIDIYO Ekibiina Kyaffe Gye Kivudde—Obukulu bw’Okuyimba, Ekitundu 2. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Kintu ki ekikulu ekyaliwo mu 1944?

  • Baganda baffe mu Siberia baakiraga batya nti baali baagala okuyimba ennyimba z’Obwakabaka?

  • Lwaki okuyimba kukulu nnyo eri Abajulirwa ba Yakuwa?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 18 ¶6-15

Okufundikira (Ddak. 3) | 3Oluyimba 73 n’Okusaba