Noovemba 25–Ddesemba 1
ZABBULI 109-112
Oluyimba 14 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Wagira Yesu, Kabaka!
(Ddak. 10)
Yesu bwe yaddayo mu ggulu, yatuula ku mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo (Zb 110:1; w06 10/1 lup. 29 ¶6)
Mu 1914, Yesu yatandika okuwangula abalabe be (Zb 110:2; w00 4/1 lup. 25 ¶3)
Tusobola okwewaayo kyeyagalire okuwagira Obufuzi bwa Yesu (Zb 110:3; be lup. 76 ¶2)
WEEBUUZE, ‘Biruubirirwa ki bye nnyinza okweteerawo okukiraga nti mpagira Obwakabaka?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Zb 110:4—Nnyonnyola endagaano eyogerwako mu lunyiriri luno. (it-1-E lup. 524 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 109:1-26 (th essomo 2)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 2) NNYUMBA KU NNYUMBA. Kozesa tulakiti okutandika okunyumya n’omuntu. (lmd essomo 4 akatundu 3)
5. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 5) Okulaga ekyokulabirako. ijwfq 23-E—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebeenyigira mu Ntalo? (lmd essomo 4 akatundu 4)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
Oluyimba 72
7. Tuyinza Tutya Okuwagira Obwakabaka?
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Gavumenti ya Yakuwa bukakafu obulaga nti Yakuwa ye Mufuzi w’obutonde bwonna. (Dan 2:44, 45) N’olwekyo, bwe tukola kyonna ekisoboka okuwagira Obwakabaka ba Katonda tuba tukiraga nti tukkiriza nti Obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi.
Mulabe VIDIYO Weeyongere Okuwagira “Omukulu ow’Emirembe.” Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
Tuwagira tutya Obwakabaka bwa Katonda?
Wandiika ekyawandiikibwa ekikwatagana na buli emu ku nsonga eziweereddwa wammanga, eziraga engeri gye tukiragamu nti tuwagira Obwakabaka bwa Katonda.
Okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe.
Okutambulira ku mitindo gy’empisa abo abafugibwa Obwakabaka gye basaanidde okutambulirako.
Okubuulira abalala n’obunyiikivu ku Bwakabaka bwa Katonda.
Okugondera ab’obuyinza, naye bwe batulagira okukola ekikontana n’amateeka ga Katonda tetubagondera.
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 18 ¶16-24