Noovemba 4-10
ZABBULI 105
Oluyimba 3 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak.1)
1. “Ajjukira Endagaano Ye Emirembe n’Emirembe”
(Ddak. 10)
Yakuwa yawa Ibulayimu ekisuubizo; ekisuubizo ekyo yaddamu n’akibuulira Isaaka ne Yakobo (Lub 15:18; 26:3; 28:13; Zb 105:8-11)
Ekisuubizo ekyo kyalabika ng’ekitasobola kutuukirira (Zb 105:12, 13; w23.04 lup. 28 ¶11-12)
Yakuwa teyeerabira ndagaano gye yakola ne Ibulayimu (Zb 105:42-44; it-2-E lup. 1201 ¶2)
WEEBUUZE, ‘Okukimanya nti Yakuwa yeesigika kiŋŋanyula kitya?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 105:17-19—“Ekigambo kya Yakuwa” kyalongoosa kitya Yusufu? (w86-E 11/1 lup. 19 ¶15)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 105:24-45 (th essomo 5)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 1) NNYUMBA KU NNYUMBA. Gw’oyagala okubuulira alina by’akola. (lmd essomo 2 akatundu 5)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 2) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu bw’atandika okuwakana, komya emboozi mu mirembe. (lmd essomo 4 akatundu 5)
6. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Muwe magazini eyogera ku nsonga gye yali ayagala okumanya. (lmd essomo 8 akatundu 3)
7. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mubuulire ku JW Library®app, era omuyambe okugiwanula. (lmd essomo 9 akatundu 5)
Oluyimba 84
8. Engeri gy’Oyinza Okulagamu Yesu Okwagala
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Bwe tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, ne ssente, okuwagira emirimu gy’Obwakabaka, kiba kiraga nti twagala Kabaka waffe Yesu Kristo. Ate era ekyo kiganyula bakkiriza bannaffe era kisanyusa Yakuwa. (Yok 14:23) Ebitundu ebiri ku jw.org wansi w’omutwe, “Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu,” biraga engeri ssente ze tuwaayo gye ziyambamu bakkiriza bannaffe mu nsi yonna.
Mulabe VIDIYO. Ssente z’Owaayo kye Zikola. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Ssente ze tuwaayo bwe zikozeseddwa okulwanirira eddembe lyaffe ery’okusinza kiganyudde kitya bakkiriza bannaffe?
-
Ssente eziweebwayo bwe zikozeseddwa ‘kyenkanyi’ kiyambye kitya mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka?—2Ko 8:14
-
Ssente eziweebwayo bwe zikozeseddwa okuwagira omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli mu nnimi nnyingi, birungi ki ebivuddemu?
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 17 ¶13-19