Ddesemba 30, 2024–Jjanwali 5, 2025
ZABBULI 120-126
Oluyimba 144 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Baasiga Bakaaba, Naye Baakungula n’Essanyu
(Ddak. 10)
Abayisirayiri baasanyuka nnyo bwe baanunulibwa okuva e Babulooni okuzzaawo okusinza okulongoofu (Zb 126:1-3)
Abo abaakomawo mu Buyudaaya, bayinza okuba nga baakaaba olw’emirimu emingi gye baalina okukola (Zb 126:5; w04 6/1 lup. 29 ¶10)
Baafuba okukola emirimu egyo era baafuna emikisa (Zb 126:6; w21.11 lup. 24 ¶17; w01 8/1 lup. 14 ¶13-14; laba ekiri ku kungulu)
EKY’OKULOWOOZAAKO: Oluvannyuma lw’okununulibwa mu nsi ya Sitaani eno ku Amagedoni, kusoomooza ki kwe tunaafuna ng’ensi erongoosebwa? Mikisa ki gye tunaafuna?
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 123:2—Okutunuulira Yakuwa kitegeeza ki? (w18.07 lup. 12-13 ¶1, 2)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 124:1–126:6 (th essomo 5)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. (lmd essomo 3 akatundu 5)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Lwe wasembayo okwogera naye, yali abuusabuusa ebyo ebiri mu Bayibuli. (lmd essomo 9 akatundu 5)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
Oluyimba 155
7. Sanyuka olw’Ebisuubizo bya Yakuwa
(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Yakuwa yatuukiriza ebisuubizo bye eri abantu be abaali mu buwambe e Babulooni. Yabanunula era n’abawonya mu by’omwoyo. (Is 33:24) Yabakuuma n’ensolo zaabwe ne batattibwa mpologoma n’ensolo endala ezeeyongera obungi, abantu bwe baali mu buwaŋŋanguse. (Is 65:25) Kati baali basobola okubeera mu mayumba gaabwe n’okulya ebibala okuva mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu. (Is 65:21) Yakuwa yawa omukisa emirimu gy’emikono gyabwe era baawangaala.—Is 65:22, 23.
Mulabe VIDIYO eyaggibwa mu vidiyo erina omutwe, Sanyuka olw’Emirembe Katonda Gye Yatusuubiza. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:
-
Obunnabbi obwo butuukirizibwa butya leero?
-
Bunaatuukirizibwa butya ku kigero ekisingawo mu nsi empya?
-
Bunnabbi ki bw’osinga okwesunga okulaba nga butuukirira?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 20 ¶8-12, akasanduuko ku lup. 183