“Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna”
Tusaanidde okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Amakulu g’erinnya lye gatuwa obukakafu nti asobola okutuukiriza byonna bye yasuubiza. Okusaba kutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa. Essuula 3 ey’ekitabo ky’Engero, etukakasa nti bwe tuneesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, ajja ‘kutereeza amakubo gaffe.’
Omuntu eyeetwala okuba ow’amagezi . . .
-
asalawo nga tasoose kusaba Yakuwa kumuwa bulagirizi
-
yeesigama ku ndowooza ye oba ey’abantu b’ensi
Omuntu eyeesiga Yakuwa . . .
-
afuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’asoma Bayibuli buli lunaku, ng’afumiitiriza, era ng’asaba buli lunaku
-
nga tannasalawo, asooka kunoonyereza n’afuna obulagirizi bwa Yakuwa
EKISOOKA: Nsalawo kye ndowooza nti kye kituufu |
EKISOOKA: Nnoonya obulagirizi bwa Yakuwa okuyitira mu kusaba n’okwesomesa |
EKY’OKUBIRI: Ne ndyoka nsaba Yakuwa awe omukisa ekyo kye nsazeewo |
EKY’OKUBIRI: Ne ndyoka nsalawo nga nsinziira ku misingi gya Bayibul |