Amagezi Gasinga Zzaabu
Lwaki amagezi agava eri Katonda ga muwendo nnyo? Amagezi ago gayamba omuntu okwewala empisa embi n’okusigala nga mulamu. Gamuyamba okuba omusanyufu, okwogera mu ngeri ey’amagezi, n’okweyisa obulungi.
Amagezi gatuyamba obutaba ba malala
-
Omuntu ow’amagezi aba akimanyi nti Yakuwa ye nsibuko y’amagezi gonna
-
Abo abalina ebirungi bye batuuseeko, oba abafunye enkizo balina okwegendereza ennyo baleme okufuna amalala
Amagezi gatusobozesa okwogera ebizimba abalala
-
Omuntu ow’amagezi alaba ebirungi mu balala era aboogerako bulungi
-
Ebigambo eby’amagezi bisikiriza era biwoomerera ng’omubisi gw’enjuki; biba tebirumya balala