Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okuddamu Obulungi mu Nkuŋŋaana

Engeri y’Okuddamu Obulungi mu Nkuŋŋaana

Bwe tuwulira eby’okuddamu ebirungi nga tuli mu nkuŋŋaana, tuzimbibwa mu by’omwoyo. (Bar 14:19) N’oyo aba azzeemu obulungi naye aganyulwa. (Nge 15:23, 28) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okuddamu waakiri omulundi gumu mu buli lukuŋŋaana. Olw’okuba tuyinza obutalondebwa buli lwe tuwanika omukono, kiba kirungi okutegeka eby’okuddamu ebiwerako.

Eky’okuddamu kiba kirungi . . .

  • nga kiri mu bigambo bitonotono era nga kyangu okutegeera. Emirundi egisinga kiyinza okuba kya butikitiki 30 oba obutawera

  • ng’oyo addamu tasoma kisome mu katabo

  • ng’oyo addamu tayogera ku ebyo abalala bye bamaze okwogerako

Bw’oba nga ggwe asoose okulondebwa . . .

  • ddamu butereevu ekibuuzo ekibuuziddwa

Ekibuuzo bwe kiba nga kiddiddwamu, oyinza . . .

  • okulaga engeri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa gye kikwatagana n’ensonga eyogerwako

  • okulaga engeri esonga eyogerako gy’etukwakako

  • okunnyonnyola engeri gye tusobola okukolera ku ekyo kye tuyize

  • okuwaayo ekyokulabirako ekimpimpi ekikwatagana n’ensonga enkulu