Okitobba 24-30
ENGERO 17-21
Oluyimba 76 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Noonya Emirembe”: (Ddak. 10)
Nge 19:11
—Sigala ng’oli mukkakkamu nga waliwo akunyiizizza (w14 12/1 12-13) Nge 18:13, 17; 21:13
—Fuba okumanya byonna ebizingirwamu (w11 8/15 30 ¶11-14) Nge 17:9
—Sonyiwa oyo akunyiizizza (w11 8/15 31 ¶17)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Nge 17:5
—Emu ku nsonga lwaki tulina okwegendereza nga tusalawo engeri gye tuneesanyusaamu y’eruwa? (w10 11/15 6 ¶17; w10 11/15 31 ¶15) Nge 20:25
—Ekyawandiikibwa kino kikwata kitya ku kwogerezeganya era ne ku bufumbo? (w09 5/15 15-16 ¶12-13) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Nge 18:14–19:10
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Muwe akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana. (inv)
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) inv
—Ng’ofundikira mubuulire nti tulina vidiyo, Biki Ebikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka? Ng’Oyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) lv 57 ¶14-15
—Yamba omuyizi okukiraba nti asaanidde okulowooza ku nnyambala ye n’engeri gye yeekolako ng’ajja mu nkuŋŋaana.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 77
Okunoonya Emirembe Kivaamu Ebirungi: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okunoonya Emirembe Kivaamu Ebirungi. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Biki bye twandyewaze okukola nga tufunye obutategeeragana n’omuntu omulala? Birungi ki ebivaamu bwe tukolera ku magezi agali mu Engero 17:9 ne Matayo 5:23, 24?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 3 ¶8-15, akas. ku lup. 30
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 48 n’Okusaba