Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Weewale Okwefaako Wekka n’Okunyiiga Amangu

Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Weewale Okwefaako Wekka n’Okunyiiga Amangu

LWAKI KIKULU: Yesu yayigiriza nti okwagala kwe kwandyawuddewo Abakristaayo ab’amazima. (Yok 13:34, 35) Okusobola okwoleka okwagala ng’okwo, tusaanidde okufaayo ku balala n’okwewala okunyiiga amangu.​—1Ko 13:5.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Omuntu bw’ayogera oba bw’akola ekintu ne kikunyiiza, sooka olowooze ku kimuviiriddeko okweyisa bw’atyo, n’ebiyinza okuva mu ekyo ky’olowooza okukola.​—Nge 19:11

  • Kijjukire nti ffenna tetutuukiridde, era oluusi twogera oba tukola ebintu ate oluvannyuma ne twejjusa

  • Mugonjoole obutategeeragana mu bwangu

MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”​—WEEWALE OKWEFAAKO WEKKA N’OKUNYIIGA AMANGU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Larry yeeyisa atya obubi nga Tom alina ky’amugambye?

  • Tom bwe yasiriikiriramu n’afumiitiriza, kyamuyamba kitya?

  • Engeri Tom gye yaddamu yayamba etya okukkakkanya embeera?

Ekibiina kiganyulwa kitya bwe tusigala nga tuli bakkakkamu nga waliwo atunyiizizza?