Okitobba 29–Noovemba 4
YOKAANA 18-19
Oluyimba 54 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Yawa Obujulirwa ku Mazima”: (Ddak. 10)
Yok 18:36—Amazima ago okusingira ddala gaali gakwata ku Bwakabaka bwa Masiya
Yok 18:37—Yesu yawa obujulirwa ku mazima agakwata ku bigendererwa bya Katonda (“okuwa obujulirwa ku,” “amazima” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 18:37, nwtsty)
Yok 18:38a—Kirabika Piraato yali ategeeza nti teriiyo mazima okutwalira awamu (“Amazima kye ki?” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 18:38a, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yok 19:30—Lwaki Yesu bwe yali anaatera okufa, yagamba nti “kiwedde”? (w10 8/15 lup. 11 ¶15)
Yok 19:31—Bukakafu ki obulaga nti Yesu yafa nga Nisaani 14, mu mwaka gwa 33 E.E.? (“olunaku lwa Ssabbiiti eyo lwali lukulu” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 19:31, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yok 18:1-14
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma mulage omukutu jw.org.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, n’ekibuuzo ky’onoddamu omulundi oguddako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 14 ¶6-7
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Sanyukira Wamu n’Amazima”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, “Mwagalanenga”—Tosanyukira Bitali Bya Butuukirivu, Wabula Sanyukira Wamu n’Amazima. Obudde bwe bubaawo, mukubaganye ebirowoozo ku biri mu kasanduuko “Ekyokulabirako Ekiri mu Bayibuli eky’Okufumiitirizaako.”
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 41
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 32 n’Okusaba